TOP

Emidaala n’amaduuka mu USAFI byakugabibwa buto

By Hannington Nkalubo

Added 22nd February 2018

ABAKUGU bazudde nti waliwo emivuyo egyakolebwa mu ngaba y’amaduuka n’emidaala mu katale ka USAFI ne balagira baddemu babigabe okusobola okutereeza byonna ebyasoba.

Wanda 703x422

Mu lipooti eyafulumiziddwa nga January 31 omwaka guno ng’essiddwaako omukono gwa Can.

Moses Bwire akulira ebyokutereeza ebitabo mu KCCA , yazudde ebyewuunyisa bingi ebyetobeka mu ngaba y’amaduuka.

Lipooti eraga nti olukalala lwa bannannyini maduuka olwaweebwa KCCA ng’eguze akatale kano mu 2014 lwakyuka era lwawuka kinene ku bwannannyini bw’abasuubuzi abali mu katale ekiseera kino.

Lipooti eraze nti bangi ku baasooka mu katale baakavaamu ne batunda amaduuka gaabwe n’emidaala ng’abamu baagula bannaabwe ne baweza amaduuka agasoba mu limu erikkirizibwa mu mateeka ate bangi amaduuka ne bagasuulawo ng’ekiseera kino makalu.

Kyokka byonna kigambibwa nti baabikola tebategeezezza KCCA, nnannyini katale.

Abakugu balaze nti bino bifiirizza nnyo KCCA ne bikendeeza ennyingiza y’ekitongole era okubimalawo, lipooti yasembye bino; KCCA eddemu egabe bupya amaduuka gonna agali mu katale kano.

Mu July wa 2017, KCCA yayita abasuubuzi abakolera mu maduuka agali mu katale mu lukiiko olw’awamu n’ebategeeza ku nteekateeka eno kyokka yali tennaba kutuukirira.

Mu lukiiko lwe lumu era yalangirira nti amaduuka gonna gagenda kuddamu okugabibwa.

Abasuubuzi baatandikirawo okusaba amaduuka okusinziira ku buli omu lye yali ayagala era abasuubuzi 345 be batutteyo amabaluwa agasaba amaduuka.

Lipooti eraga nti akatale kano kalimu amaduuka 188 kyokka amaduuka 199 gamaze okugabibwa nti wasigaddewo 119 agalindirirwa okulangirirwako bannyinigo. Lipooti eraga nti amaduuka gonna gagenda kugabibwa ate oluvannyuma bazzeeko emidaala nga bayita mu nkola yeemu.

AMATEEKA

Abakugu bazudde nti bangi ku baaweebwa amaduuka mu kusooka tebaategeera mateeka gaali gagenderako kyokka kati tewali akkirizibwa kupangisa dduuka limuweereddwa wadde okulitunda mu nkola ya ‘goodwill’.

Tewali akkirizibwa kuva mu dduuka limuweereddwa n’alirekawo okumala ennaku 60 nga tategeezezza KCCA n’ensonga ezirimu eggumba mu buwandiike.

Tewali musuubuzi akkirizibwa kusuulawo dduuka limuweereddwa n’alisibiramu emmaali ye nga tategeezezza KCCA era bw’akikola bagenda kulimenya bakasuke ebintu bye ebweru.

Okukola lipooti eno kiddiridde olukiiko lwa Loodi meeya, Erias Lukwago olwatuula nga May 17, 2017 okutabuka ne lulangirira nti babannyonnyole baani abatuufu abalina amaduuka mu katale kano n’emidaala kubanga kigambibwa nti n’abamu ku bakozi mu KCCA beegabira ku maduuka n’ebifo mu katale kano ate ng’abasuubuzi bangi abakakoleramu tebalina bwannannyini bwa bifo.

Olukiiko lwasaba baddemu banoonyereze ku nzirukanya y’akatale n’okutereeza ebisobye era lipooti eyafulumiziddwa yasembye nti baddemu bagabe bupya amaduuka n’emidaala mu katale. Lipooti eraze nti bangi ku bannannyini maduuka tebabadde na ndagaano eraga bwannannyini butuufu ne KCCA wadde ne kkampuni eyaguza KCCA akatale eyitibwa M/S SAFINET UGANDA LTD.

Lipooti esembye nti mu nteekateeka empya bonna baweebwe ebiwandiiko ebiraga obwannannyini mu mateeka. Lipooti eraze nti bangi ku bakolera mu maduuka n’emidaala babadde tebasasula okumala emyezi 20 era basembye buli abanjibwa asasule bunnambiro.

Lipooti eno yaweereddwaako minisita wa Kampala, Beti Kamya, Loodi meeya Erias Lukwago, omumyuka wa Loodi meeya, Sarah Kanyike ne bameeya ba munisipaali ettaano ezikola Kampala.

Akatale kano akawerako yiika mukaaga kabaddemu emivuyo mingi okutandikira ku mugagga Omar Ssekamate mu biseera by’okugula ettaka n’okusengula abaali balikolerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...