Sseggwanga Musisi yafutiza Abazungu e Kenya

By Musasi wa Bukedde

Sseggwanga y’omu ku baatandikawo ttiimu ya Express ng’ali wamu n’omugenzi Jolly Joe Kiwanuka.

Ssegwangamusisi1 350x210

BW’OYOGERA erinnya Kezekia Sseggwanga Musisi, mu bantu abakuze mu myaka, nga bagoberezi ba muzannyo gw’omupiira mu Uganda, tekikwetaagisa kweyongera kumunnyonnyola.

Okuggyako ng’oyogera ku kiti kye ekirala eky’ebyobufuzi! Mu kuziika omugenzi Sseggwanga, abantu ab’enjawulo bangi abaamwogeddeko nga munnabyamizannyo ate munnabyabufuzi.

Eyaliko Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Kaddu Sserunkuuma yagambye nti yasisinkana Sseggwanga mu 1969 n’abeera mukwano gwe n’amuyingiza ne mu bukulembeze bw’omupiira n’okugwagala okutuusa kati.

Omubaka Betty Nambooze Bakireke, yagambye nti ky’ajjukira ku Sseggwanga, abadde ayagaliza era akutte ku bantu bangi n’ajjukiza nti ye amawulire yagatandikira mu lupapula lwa Munno ate Sseggwanga ng’ali mu lupapula lwa Ngabo.

 mulabirizi sebaggala yakulembedde okusabira omugenzi Omulabirizi Ssebaggala yakulembedde okusabira omugenzi.

 

Olumu bakama be baamutuma okubaako by’abuuza Sseggwanga era bwe yatuukayo ne boogera, Sseggwanga n’alaba omuwala omuto omugezi ennyo.

‘Amangu ago yampeerawo amagezi obutadda mu Munno ne nneegatta ku Ngabo era n’antendeka n’ebyaddirira byonna mmwenyumirizaamu’, Nambooze bwe yategeezezza.

Kezekia Sseggwanga Musisi yazaalibwa mu 1928, nga kitaawe yali omugenzi Misusera Bukulu eyali omusawo omutendeke.

Mu 1937, yatandika okusoma ekibiina ekisooka mu Namiryango Boys era mu bamu ku baali mikwano gye, ye mutabani w’eyali Omulamuzi wa Buganda, Matayo Mugwanya, eyayitibwanga Mulo.

Sseggwanga okumanya nga yayagala omupiira okuva mu buto, yanyumya nti olumu baatolokanga ekiro mu kisulo ne banne okw’omwezi ne bagenda mu kisaawe ne basamba omupiira era kino kya baagobya mu ssomero ne banne abalala bana.

Oluvannyuma lw’okugobwa e Namiryango, kitaawe yamutwala e Namuηηoona ewa Fr. Sparters Ssebbanja gye yasomera okutuuka mu kibiina ekyokuna.

Ng’ali mu maka gano, yatandika okulaba bannabyabufuzi nga bakuηηaana naddala abo abeegattiranga mu kibiina kya Bataka Bbu.

Mu kiseera kino ng’akyali mulenzi muto, yafuna omukisa n’asisinkana abantu abaali bannabyabuzi ab’amaanyi mu Buganda mu kiseera ekyo, ng’omugenzi Ssemakula Mulumba eyajjanga ne yeetaba mu nkiiko z’okutema empenda Uganda okwefuga.

Buli Lwamukaaga baagendanga mu maka ga Lwanga Kabazzi Miti nga nayo ebeerayo enkuηηaana z’ebyobufuzi era nga nazo zikwata ku byakwefuga olwo atandika okunyumirwa ebyobufuzi ku myaka emito.

Mu 1944, Sseggwanga yeegatta ku ssomero lya Aggrey Memorial eryali litandikiddwaawo abasomesa abeediima mu King’s College Budo olw’Omuzungu okugaana okutimba ekifaananyi kya Kabaka Muteesa II.

Mu 1949, Sseggwanga yava mu Aggrey n’agenda e Kenya ne yeegatta ku ttendekrero lya Nairobi Commercial College gye yakugukira mu Lungereza n’okubala ebitabo.

Mu 1951, omwami eyali akulira essomero lya Aggrey yalivaamu oluvannyuma lw’okukwatibwa Abazungu ne bamuwaηηangusiriza e Mbale bwe yadda n’atandika essomero e Kyebando ku lw’e Gayaza.

Yawa Sseggwanga omulimu gw’okumubalira ebitabo n’okumukubira ebiwandiiko mu tayipu.

Oluvannyuma yafuna omulimu mu gavumenti mu kitongole ky’ebyobusuubuzi.

Mu 1952, Sseggwanga yalekawo omulimu n’agenda e Kenya ne yeegatta ku lutalo lwa Mau-Mau nga Bannakenya balwanirira obwetwaze, era ne bawangula.

Ng’atuuse e Kenya, yatandikawo ekibiina ekigatta abayizi era ekibiina kino kyakolagana n’ekibiina kya Kenya African Union ekyalwanirira obwetwaze bwa Kenya.

Mu 1957, Sseggwanga ng’ali mu kibuga Nairobi, yakunga Bannayuganda abaali mu Kenya ne baaniriza Ssekabaka Muteesa II mu kitiibwa bwe yayitirayo okugenda e Zanzibar okukyalira Sultan waayo, ekyewuunyisa ennyo abantu baayo engeri Abaganda gye baalagamu Kabaka waabwe essanyu.

Emyaka gya 1960 we gyatandikira, Sseggwanga yali amaze okufuukira ddala munnabyabufuzi era yayingira ekibiina kya UPC ng’ali wamu n’omugenzi Grace Ibingira.

Mu 1964, Sseggwanga ne banne baatandika okukiraba nti Milton Obote yali atandise okuva ku mulamwa ne batandikirawo okumulwanyisa.

Baatondawo ekiwayi ekiyitibwa UPC-Buganda ekyakulirwanga Ibingira baggyeko Obote kyokka baalemwa okutuukiriza enteekateeka yaabwe era bonna abaagirimu Obote yabakwata n’abaggalira abalala ne badduka mu ggwanga abamu ne battibwa.

EBYEMIZANNYO

Sseggwanga y’omu ku baatandikawo ttiimu ya Express ng’ali wamu n’omugenzi Jolly Joe Kiwanuka.

Mu 1967, yalondebwa ku bwassentebe bw’ekibiina ekifuga omupiira mu Kampala, y’omu ku baatandikawo CECAFA ekitwala omupiira mu East Afrika ne Central era n’agikulemberako mu 1973.

Y’omu ku baali mu nteekateeka z’okuzzaawo emipiira gy’ebika bya Buganda nga bakulemberwa Omulangira Badru Kakungulu mu 1987.